Amawulire

Oryemu yesambye ebigambo bya Gen Muhoozi

Oryemu yesambye ebigambo bya Gen Muhoozi

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2022

No comments

Bya URN

Gavumenti yesambye ebigambo ebyayogeddwa omudumizi wamagye gegwanga agaokuttaka Gen Muhoozi Keinerugaba, bweyawagidde ekyakolebwa Russia okulumba lya Ukraine.

Bino yabiteeka ku twitter, bweyali ayongereza ku byali biwandikiddwa munnamauwlire Andrew Mwenda.

Bino byavumiriddwa nnyo, nga n’omukago gwa Bulaaya olunnaku lweggulo baafulumizza ekiwandiiko nga balabula abakulembeze mu Uganda, ku bigambo bino.

Kati minisita omubeezi owensonga zebweru wegwanga, avunanyizbwa ku nkolagana namawanga amalala Henry Okello Oryem, ebigambya Muhoozi abyesambye nagamba nti ssi bitongole er tebikirira minisitule ye wadde gavumenti ku nsonga za Ukraine ne Russia.

Agambye nti yabadd ndowooza ye ngomuntu era nga nabantu abalala bwebabeera nendowooza zaabwe.

Oryem agambye nti Uganda tewagira bikolwa byakuwakula ntalo na kulwanagana, webayimiridde ku nsonga zino nti enjuuyi zombie ziteseganye okutuuka ku kukaanya.