Amawulire
Omwana owemyezi 4 afiridde mu muliro
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Masaka etandise okunonyereza kungeri omwana owemyezi 4 gyafiridde mu muliro ogukutte ennyumba.
Omugenzi abadde muwala wa Nanono Kilabo, nga bino bibadde ku kyalo Kilinda mu gombolola ye Mukungwe.
Okusinziira ku maama womwana ono, omuliro gukutte ennyumba bwabadde agenzeeko ku dduuka, mu kiro okugula akasubaawa.
Ono agambye nti kimwewunyisizza okudda awaka ngenyumba eteta.
Omwogezi wa poliisi mu bitundy bye Masaka Paul Kangave agambye nti basubira, okuba ngmuliro gwavudde ku musubbaawa gweyalese nga gwaka.
Agambye nti bisigalira byomwana babitutte mu ddwaliro ekkulu e Masaka ngokunonyereza kukyagenda mu maaso.