Amawulire

Omwana ow’emyaka 12 akubiddwa amasanyalaze

Omwana ow’emyaka 12 akubiddwa amasanyalaze

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Omwana ow’emyaka 12 akubiddwa amasanyalaze agamuttidewo mu Bulambuli district.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rogers Taitika, agambye nti poliisi ye Buluganya etandise okunonyereza kunfa yómwana ono.

Omugenzi ye Wodundu Micheal mutabani wa was a Kajeke Francis 35 nga musomesa mutendeke, era nga mutuuze we Lugoba mugombolola ye Nabiwutulu mu Bulambuli district.

Taitika agamba nti omwana afudde oluvanyuma lwokulinya ku waya ya masanyalaze.