Amawulire

Omwana ofudde abazadde bwebatabuse

Omwana ofudde abazadde bwebatabuse

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Kisoro etandise okunonyereza ku nfa yomwana owemyaka 2, oluvanyuma lwa bazadde be okufuna obutakanya mu maka.

Omugenzi ategerekeseeko lya Isaac, mutabani wa Ababa Erasmus ne Kampire Rose abatuuze ku kyalo Rutaka mu dombolola ye Kirundo.

Kigambibwa nti abazadde baafunye obutakanya, nga taata abaddenga alumiriza omukazi obwenzi, ngagamba nti omwana ono ssi wuwe, ekyavirako nomukazi okunoba.

Kati omwogezi wa poliisi mu Kigezi Eli Matte agambye nti omukazi yaddayo ewa kitaawe, naleka abaana, ngoluvanyuma omulenzi ono, omulambo gwe baagusanze gutengejjera ku Nyanja Mutanda okulinaana olusozi Chameleon.

Kati poliisi egamba nti etandise okunonyereza.

Wabyula kigambibwa nti obutakanya bwabazadde bano, bwaai bwatuuka nemu kooti mu maaso gom,ulamuzi we ddala erisooka, wabula nebabasindika bagende ku wofiisi ya district ekola ku byamaka.