Amawulire

Omwana asuuliddwa

Ali Mivule

October 9th, 2014

No comments

Serunjogi

Poliisi ye Kibinge e Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omukazi atanategerekeka,nga ono yasudde  omwana gweyabadde yakazaala ku ofiisi z’egombolola , nga ono azuuliddwa omuyise atemezza ku b’obuyinza abamugyewo.

Jane Nabweteme nga y’avunanyizibwa ku nsonga z’abakyala avumiridde ekikolwa kino era n’asaba okukaliriza amaaso ku bannakawere bonna abali ku kyaalo nga tebalina baana baabwe.

Ono obuvunanyizibwa abutadde ku basajja abalagajalira abakyaala baabwe oluvanyuma lw’okubatikka embuto nga kiviiriddeko banji okusuula abaana baabwe ku kasasiro ne kabuyonjo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino , Noah Sserunjoji akakasizza nga omwana ono bwatwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa nga n’omuyiggo gw’omukyala ono gukyagenda maaso.

Sserunjoji alabudde abazadde bonna abalagajalira abaana baabwe nti baakugalirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *