Amawulire

Omwana akazizza ssentebe

Ali Mivule

September 17th, 2014

No comments

children in a class with no seats

Omuyizi ow’ekibiina ekisooka ku ssomero lye Namwaya erisangibwa e Tororo awunikirizza abantu bw’alumbye ssentebe wa disitulikiti ng’ayogera n’amubuuza lwaki essomero lye teririna kabuyonjo

SSentebe Emmanuel Osuna abadde akyaddeko ku ssomero lino okulaba oba abayizi balya ekyemisana

Omwana ono ow’emyaka 8 ategerekese nga Massey Omalla ayambalidde ssentebe  ng’agamba nti kabuyonjo gyebaalina yagwa kyokka nabatafuna ndala era ng’obulamu bwaabwe buli mu matigga

Amyuka akulira essomero lino Domisiano Oboth, agambye nti yadde balina abayizi 946, tebalina kabuyonjo

SSentebe akkirizza nti obuzibu webuuli n;asuubiza ensonga okugikolako

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *