Amawulire

Omwana agudde mu muliro

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

gal burnt

Omwana ow’omwezi ogumu agudde mu sigiri n’aggya  omutwe gwonna.

Nyina w’omwana ono kigambibwa okuba ng’aliko obulwadde obumulumba nebumukuba wansi era nga ku luno bumusudde mu sigiri

Omukyala ono mutuuze we Kasubi ng’omwana omulenzi gw’asudde mu sigiri akyajjanjabibwa mu ddwaliro e Mulago.

Kitaawe womwana ono mu kiseera kino ali Rwanda gyakolera era ng’omukyala ono mu nyumba abadde abeera mu yekka