Amawulire

Omwana abbidde,Ekidyeri kizzeemu okukola

Ali Mivule

February 13th, 2014

No comments

Boats editted

Omwana atemera mu gy’obukulu 12 agudde mu mazzi n’afiirawo .

Afudde ategerekese nga Yazida Wagongo owe ku bizinga bye Buvuma.

Omwana ono abadde ava ku ssomero wabula n’asalawo okusooka okuwuga nay nga talutonze,

Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti omwana ono yasoose kukozesa lyaato eryamututte ewala era nga yabbidde nga tewali asobola kumuyamba

Mu ngeri yeemu, abatuuze be Kiyindi ne Bukakata kyaddaaki baluvuddeko ekidyeeri kyaabwe bwekizzeemu okukola.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savanna, Lameck Kigozi akubirizza abantu okukomya okukozesa obwaato kubanga bwabulabe eri obulamu bwaabwe