Amawulire

Omwana abadde yabula bamusanze mufu

Omwana abadde yabula bamusanze mufu

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omwana owemyaka 6 abadde yabula asangiddwa nga mufu, oluvanyuma lwa wiiki namba.

Omugenzi ategerekeseeko lya Golole mutabani wa Abdallah Odundo ngabadde mutuuze we Iguru-ibi mu gombolola ye Wairasa mu district ye Mayuge.

Omulambo gwomwana ono bagusanze mu ssamba ly’ebikajjo okumpi ne ssamba ly’ebikajjo.

Ssentebbe we kyalo Paul Musabi atubuliidde nti ekyalo kiguddemu enssagge, era kati abantu bali mu kutya okwaanyi.

Poliisi ejjeewo omulambo negutwalibwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Iganga erye Nakkavule okwekebjebwa okuzuula kyamutta.