Amawulire

Omuyizi wa p.4 yettuze

Omuyizi wa p.4 yettuze

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ate poliisi mu disitulikiti ye Bugiri etandise okunonyereza kungeri omwana owa P4, gyeyetuzeemu oluvanyuma lwokumukaka agenda mu nnimiro, akole ngakagologoosi okukanga ebinyonyi ebirya omuceere.

Omugenzi ye Amina Nakyema, ngabadde wamyaka 11, era muyizi ku ssomero lya Nabukalu P/S.

Bino bibadde ku kyalo Namundolela mu tawuni kanso ye Nabukalu e Bugiri.

Tekinategerekeka ani yakase omwana ono okwefuula ekibumbe, ekintu ekyamutisizza natuuka nokwetuga, wbaulanga abadde abeera ne mukulu we Mariam Nakyema.

Geoffrey Kakaire, nga ye ssentebbe w’egombolola ye Nabukalu atuuse mu kitundu nakubira gavumenti omulanga okukola ekyamangu, eggulewo amsomero kubanga baana bolekedde okwongera okufuna ebizibu nga tebasoma.

Yyo poliisi wansi womuddumzi waayo Douglas Erem, bagambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *