Amawulire

Omuwendo gwábakattibwa abébijjambiya gulinye kati bali 20

Omuwendo gwábakattibwa abébijjambiya gulinye kati bali 20

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Obutemu bwe Masaka bwongedde okusasaana nemu disitulikiti endala, eziri mu kitundu kino.

Waliwo omuntu omulala atiddwa ku kyalo Kisaka mu disitulikiti ye Bukomansimbi, atenga mu bulumbaganyi bwebumu omu yeyalumiziddwa.

Omugenzi ye Muhamad Mwanje, atenga munne Jimmy ssemanda yalumiziddwa.

Bano bombi batuuze ku kyalo kino mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi.

Mukasa Robert, omutuuze ate mulirwana wa Ssemanda agambye nti bawulidde enduulu nebaddukiririra, baamutiutte mu ddwaliro.

Kati abantu baweze 20, abakatibwa mu bitundu bye Masaka, mu mwezi gumu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Muhamad Nsubuga agambye nti abatemu naddala e Lwengo, bekuusa ku busamize nenkayana zettaka.