Amawulire

Omuwendo gw’abafudde gulinnye okutuuka ku bantu 18

Omuwendo gw’abafudde gulinnye okutuuka ku bantu 18

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omuwendo gw’abantu abafiridde mu kimmotoka kyamafuta ekyabwatuse mu district ye Rubirizi, gulinnye okutuuka ku bantu 18.

Enjega eno yabaddewo olunnaku lwe ggulo mu kabuga ke Kyambura.

Akuliddemu ebikwekweto bino Lt Col James Kasule atubuliidde nti baliko emirambo emiralala 9 gyebajjeeyo.

Mungeri yeemu ekikwekweto bya poliisi namagye okujjayo emirambo bakiyimirizza, ate ekimotoka bwekizeemu n’ekibwatuka, era kati kiteta.

Kino agambye nti kyandiba nga kivudde ku maguta agandiba nga gaabadde gawagamidde.

Ekimotoka kino kyabadde kitwala mafuta okuva e Mbarara, wabula kyalemeredde omugoba waakyo, nekitomeregana ne taxi 2 nakamotoka akalala aka buyonjo, oluvanyuma nekikwata omuliro.