Amawulire

Omuwala owémyaka 16 afiiridde ewamuganziwe

Omuwala owémyaka 16 afiiridde ewamuganziwe

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Entiisa ebuttikidde abatuuze Ku kyalo Lwadda A e Matugga mu municipality ye Nansana bwe bagguddemu ekyekango omuwala owe myaka 16 bwasangiddwa nga afiridde mu kazigo kamuganziwe.

Omugenzi ategerekese nga Rebecca Nakigwe 16 nga abadde muyizi Ku ssomero lya Nakaseke SDA nga asoma S.3 ngono alabidwa muganziwe Nichorus Kibuuka abadde agenze okukola ngomulambo gusangidwa kuburiri.

Okusinzira Ku mukulu wa Rebecca Nakigwe nga ye  Lydia Nabakooza ategezeza nga bweyasuze ne mwanyina wabula bwebakedde okugenda ku woteeri okukola nakola emirimu olwamaze okukola emirimu nagenda ewamuganziwe era nga gyeyafiridde.

Wabula abatuuze bavumiridde ekikolwa ekikoledwa omuwala ono ngekizibu bakitadde kumugalo oguliwo ogwokugala amazomero wamu nokuganza abavubuka nga tebanaba kwetuuka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *