Amawulire

Omuvuzi wa sipeso bamusanze mufu

Omuvuzi wa sipeso bamusanze mufu

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza ku nfa yomusajj, asangiddwa mu mmotoka nga mufu, okumpi n’akatale ke Nakasero wano mu Kampala.

Omwogezi wa poliisi mu Kmpala nemiriraano Patrick Onyango agambye nti omugenzi ye Musisi John, ngabadde mugoba wa sipeso.

Ono asangiddwa mu mmotoka ye kika kya Ipsum namba UAN 506/V, nga mufu.

Poliisi ejjewo omulambo negutwalibwa mu gwnaika lye ddwaliro e Mulago, okwongera okwokebejjebwa okuzuula ekyamusse.