Amawulire

Omuvuzi wa Booda attiddwa mu bukambwe e Mpigi

Omuvuzi wa Booda attiddwa mu bukambwe e Mpigi

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abatuuze ku kyalo kyeyitabaya mu ggombolola ye kirigente mu disitulikiti ye Mpigi bagudemu ekyekango oluvannyuma lwómutuuze munaabwe omuvuzi wa boda okusangibwa nga attiddwa nasuulibwa ku kkubo bodabodaye netwalibwa.

Kiteberezebwa nti Kasaka Charles okutemulwa, abatemu bamukubidde ssimu nga beefudde abasabaze nga ali waka nagenda okubatwalako eyo gyebamutemulidde.

Ssentebe wa bodaboda mu disitulikiti ye Mpigi ssaazi Godfrey Musanyufu ategezeza nti obutemu ku bavuzi ba bodaboda mu mpigi bussuse NGA Kati basaba abebyokwerinda okwongeramu amannyi.

Ono era asabye abavuzi ba bodaboda okuba abegendereza ennyo nokomya omuze gwokutambula amatumbi budde.

Poliisi ye Mpigi oluvannyuma omulambo egujjewo nga nokunonyereza bwekugenda maaso.