Amawulire

Omuuumi asse ateberzebwa okubeera omubbi e Fort-Portal

Omuuumi asse ateberzebwa okubeera omubbi e Fort-Portal

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Polisi e Fort Portal etandise okunonyereza kungeri omukuumi mu kampuni yobwannnyini, abadde akuuma ku woteeri ya Fort View gyakubyemu, omuntu namutta.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwenzori West, Vincent Twesigye agambye nti omugenzi ye Innocent Mujuni, owemyaka 27.

Ono kigambibwa nti abadde ne banne, nebagezaako okusalinkiriza okuyingira mu woteeri okubba.

Kino kyekibagudde omukuumi nawandagaza amasasi, natta omu atenga abalala bakyaliira ku nsiko.

Bino bibadde ku kyalo Nyakabale B mu gombolola yamasekati gekibuga Fort Portal.

Omulambo gutwaliddwa mu gwanika lyeddwaliro lya Buhinga okwekebejebwa.

Kati abantu 3 bebakwatiddwa bayambeko mu kunonyereza okugenda mu maaso.