Amawulire
Omutuuze bamusuulidde eby’entiisa
Bya Ivan Ssenabulya. Abatuuze ku kyalo Kigungu ekisangibwa mu kibuga kye Mukono bagudemu eky’ekkango mutuuze munnaabwe abantu abatamanyidwa bwe bamusilidde omusaayi, ssanduuke ya bafu n’omusalaba nga bawandiiseko ebigamba nti ‘kadde kakufa’.
Abasubuuzi b’okumakya bebasoose okulaba omusaayi ne ssanduuke olwo ne bayita bannaabwe.
Tendo Sarah omu kubasoose okulaba ebyentiisa bino atubulidde nti tebamanyi kigendererwa kyokyo eyabireese naye nga wandibaawo obulabe obutusibwa ku bebabisuulidde.
Police okuva e Seeta etuuse negyawo ebintu bino okusobola okwekebejja omusaayi oba gwamuntu oba bisolo.