Amawulire

Omutuuze asanze omulambo mu kinabiro

Omutuuze asanze omulambo mu kinabiro

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Musongola mu munisipaali ye Bugiri, omusajja bwasanze omulambo mu kinabiro kye, ngagenze okunaaba.

Bino bibadde mu maka a Subuha Walujo nga mukyala we amutwaliddeyo amazzi okunaaba ekizeeko nduulu zezigoberedde.

Ssentebbe wekyalo kino Peter Muyobo agambye nti omugenzi babadde tebamumanyi mu kitundu kino.

Poliisi eyitiddwa nejjawo omulambo okutandika okunonyereza.