Amawulire

Omutindo gw’obuwereza mu bakulembeze guserebye

Omutindo gw’obuwereza mu bakulembeze guserebye

Ivan Ssenabulya

November 19th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Alipoota eyafulumiziddwa abanonyereza aba Afrobarometer eraze nti omutindo gwobuwereza bwababka ba palamenti neba kansala mu nkiiko za disitulikiti zikendedde.

Bino webijidde nga wakayita omwaka mulamba, ngabakulembeze bano balondeddwa, mu kisanja kino ekippya.

Bweyabadde ayanjula alipoota eno, omunonyereza okuva ku kitongole kya Hatchile Consults limited nga ye Francis Kibirige yagambye nti 6 ku buli bannaYuganda 10, bagamba nti abakulembeze baabwe bakola ku nsonga zaabwe ngabantu, ebibakwatako ngabatuuze ssi byebaliko.

Abantu 3,600 bebabuzibwa mu kunonyereza kuno, wakati wa Sebutemba 2019 ne January 2021 mu disitulikiti 110.