Amawulire

Omutendesi wa Express ayimirizidwa mu mipiira 3

Omutendesi wa Express ayimirizidwa mu mipiira 3

Ivan Ssenabulya

October 22nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina okitwala omuzannyo gwómupiira mu ggwanga ekya FUFA kiyimiriza omutendesi wa Express FC, Wasswa Bbosa, obutakiika mu mipiira esatu nálagirwa okusasula obukadde bwensimbi 2 ngengasi lwakwogera bigambo byatekakasa.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumizidwa, akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa kasingisiza Bbosa omusango gwókwogera ebigambo ebitaliiko mutwe na magulu mu mapaka za Uganda premier League, Express bweyali esamba Arua Hill.

Ono kigambibwa nti yagamba nti CEO wa kirabu yawa enguzi ba lifari okulaba nti express ewangulwa

Bbosa kati wakusubwa emipiira esatu okuli ogwa Red Eagles ne UPDF ogugenda okubaawo olunaku lwenkya, omulala gwa Bul nogwa express ne Vipers.