Amawulire

Omutanda asiimye okulabikako

Omutanda asiimye okulabikako

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi llasiimye okulabikako eri Obuganda ku mikolo gyolunnaku lwebyobulamu mu bwakabaka bwa Buganda eginabumbujja okuva nga 10th nenkeera waalwo nga 11th July mu ssaza lye Bugerere mu district ye Kayunga.

Kio kibikuddwa minister webyobulamu, ebyenjigiriza, ekikula kybanatu nenkulakaulana mu bUganda Dr. Prosperous Nankindu Kavuma.

Bino abitegezezza banamwulire e Mengo, bwabadde alangirira entekateeka yemikolo gino.

Agambye nti wajja kubaawo olusisira lwebyobulmu nga 10th July ku ssomero lya Kitimbwa P/S ku mwalo e Ggaliraaya.

Gy’emikolo emitongole gyakubeera ku ssomero lya St. Mark P/S e Busaana wansi womubala, abasajja kulwebyobulamu ebirungi nokukomya ssiriimu omwaka 2030 wegunatukira.