Amawulire

Omutanda aguddewo olukiiko

Omutanda aguddewo olukiiko

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa ne Ivan Ssenabulya

Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebbi 11, asiimye alabiseeko eri Obuganda mu lukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 27.

Omutanda agaddewo olukiiko olwa 26 naggulawo olutula olugya olwa 27.

Ssabasajja ajjukizza abantu be ku bukulu bw’ebibiina by’obwegassi ate nokwenyigira mu kulima nga kawefube we mwanyi terimba okusobola okwejja mu bwavu.

Asiimye abakalu b’ebika olw’okukola ennyo okumanyisa abazzukulu ku bika byabwe, nga wano abalagidde bategekenga emikolo bamuyite waakubatukako yonna gyebali okwongera okunyweza ebika.

Lord Mayor wa Kampala Elias Lukwago yoomu ku bakulembeze abalabiddwako, nga bazze okwetaba mu lukiiko luno.

Ono alaze okutya ku ssente entono zagamba nti zezitekebwa mu byobulamu, ei gavumenti eya wakati.

Agamba nti waliwo obwetaavu abakulembeze bonna okuteek amanyi mu kutumbula ebyobulamu.