Amawulire

Omutanda agenda Kayunga nga 27 omwezi guno

Ali Mivule

January 8th, 2014

No comments

Kabaka atudde Ntende

Kimaze okukakasibwa nti Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi wakuba mutaka e Kayunga nga 27 omwezi guno.

Ssabasajja essaza lye lino wakulimalamu ennaku ssatu nga yetaba ku mikolo egitali gimue gitegekeddwa.

Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi Ssengendo akkakanyizza emitima gy’abantu ku by’okwerinda by’omutanda ng’agamba nti biri guluggulu

Azzeemu okukikkatiriza nga Buganda bw’ataanyi ssabanyala era nga bakukolagana n’abakulembeze b’ekitundu kino, abaami ba ssabasajja okulaba nti buli kimu kitambula bulungi.

Namunswa lweyakoma okugezaako okugenda e Bugerere gwaali mwaka gwa 2009 era nga gavumenti yabirinnyamu eggere okukkakkana ng’abantu 30 beebattiddwa mu kwekalakaasa okwakulungulula ennaku 3 ng’abantu bavumirira ekikolw akya gavumenti.

Ku luno gavumenti yakakasizza nti yakuwa omutanda obukuumi ngali mu ssaza lino era n’ewera okufafagana n’oyo yenna anagezaako okutataagaanye emirembe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *