Amawulire

Omusumba ayagala bukuumi olwa bakayanira ekifo kyékanisa

Omusumba ayagala bukuumi olwa bakayanira ekifo kyékanisa

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Abasumba ku kanisa ya Mt. Lebanon mu munisipaali ye Mukono, bekubidde enduulu eri gavumenti babongere obukuumi.

Kino kyadiridde ekibaluwa, kiro-kitwala omunaku kyebabasuliidde nga kiralika nga bwebagenda okubamenyera ekkanisa.

Ekkanisa eno eriko enkayana, zibadde mu kooti emyaka egisoba mu 20 nga waliwo abawakanya omusumba okwekomya ebyobugagga byekkanisa, bweyateeka buli kimu mu mannyage nazimbako ne nnyumba mwasula.

Omusumba w’ekanisa eno Samwiri Lwandasa asabye ab’obuyinza okubongera obukuumi.

Kati omubaka wa gavumenti e Mukono Fatumah Nabitaka Ndisaba agambye nti nga abebyokwerinda babadde tebamanyi ku bikwata ku kiwandiiko kino.