Amawulire

Omusirikale yetidde mu nkambi e Nsambya

Omusirikale yetidde mu nkambi e Nsambya

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi ye Kabalagala etandise okunonyereza ku musirikale waabwe eyesse, bweyekubye amasasi agamujje mu budde.

Omugenzi ye Cpl George Drandi ngabadde akolera wansi w’ekitongole kya VIPPU.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigire omusirikale ono yekubidde amasasai mu nnyumba wali mu nkambi ye Nsambya, nga bibaddewo obudde bwebubadde bukya.

poliisi etuuse mu kifo kino, netandika okukunganyawo obujulizi, nga wasangiddwawo namasasi 29.

Omulambo gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Mulago, okwongera okwekebejjebwa.