Amawulire

Omusirikale wa poliisi afiiridde mu kabuyonjo

Omusirikale wa poliisi afiiridde mu kabuyonjo

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omusirikale wa police munnansi weggwanga elya south sudan abadde akolera ku police ye Magwi County mu municipaali ye Gulu mu disitulikiti ye Gulu abutikidwa kabuyonjo bwabadde agenze okwetewuluza naafiirawo.

Omugenzi ategerekese nga Daniel Deng Kul nga aweza egy’obukulu 39 nga mutuuze w’e Konyagoga parish.

Kigambibwa nti ono yafulumye okugenda mu kabuyonjo ab’ekka balabidde awo nga takomyewo

Manyok muganda w’omugenzi agamba nti Deng abadde yakatikirwa obusilikale ku ttendekero lya South Sudan Police training school era abadde yaakatandika okukolera mu Uganda

Sentebe wa LC 1 ku kyalo Konyagoga Florence Atoo ategezeeza nti kabuyonjo esse munnansi wa  South Sudan ebadde mumbeera mbi era nga yalabula dda abatuuze kuyo.