Amawulire

Omusirikale bamubbyeko emmundu poliisi n’emukwata

Omusirikale bamubbyeko emmundu poliisi n’emukwata

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi ye Kasasa mu district ye Kyotera eriko omusirikale waayo, gw’ekutte ku byekuusa ku kubula kw emmundu.

Willy Kasujja okuva ku poliisi ye Kasasa akwatiddwa, ayembeko mu kunonyereza okugenda mu maaso.

Okunonyereza kulaga nti emmundu kika kya SMG rifle n’amasasi gaamwo 29 yabiddwa okuva mu maka ga Kasusjja, mu kiro ekyakeesa olunnaku lwa Sunday.

Kigambibwa nti emmundu okujibba ono yabadde agenze ku kaduuka okumpi okugula ebintu.

Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obwagagvu bwe Masaka Paul Kangave akakasizza okukwatibwa kwomusirikale ono.