Amawulire

Abatuuze b’e Muyenga baakugula emmundu

Abatuuze b’e Muyenga baakugula emmundu

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Oluvanyuma lw’embeera ye by’okwerinda mu ggwanga okusereba ng’ejjudde kiwamba bantu ne ttemu, kino kiwaliriza abakulembeze mu bitundu by’e Muyenga mu Kampala okusalawo okukkiriza okusemba abatuuze abalina obusobozi mu kitundu kino okwegulira emmundu basobole okunyweza eby’okwerinda byabwe.

Bino byogeddwa sentebe wa Bukasa Yasin Omar mu lukungana olubadde olw’okusonda ensimbi bazimbe ekifo poliisi w’enakwataganiranga nomuntu wa bulijjo.

Omar ekye by’okwerinda ebiserebye mu kitundu kyabwe ekitadde ku kya basirikale ba poliisi ab’olubatu be balina songa ate omuwendo gwa bantu be balina okukuuma mungi, kino addumira poliisi e Muyenga Florence Ajore akkiriziganya nakyo.

Omwaka oguwedde minisitule y’ensonga ez’omunda mu ggwanga yayimiriza ekyokutunda emmundu eri abantu babulijjo ng’eyagala kusooka kwekenenya bantu bameka abazilina nameka eziri mu mikono gya bantu ba bulijjo.

Etteeka elya Firearms Act eryayisibwa mu 1970, likkiriza omuntu wa bulijjo okuba n’emmundu kasita baba nga bakulu era nga bamanyi amateeka g’emmundu