Amawulire

Omusiriakale akubye abantu 3 amasasi e Buyende

Omusiriakale akubye abantu 3 amasasi e Buyende

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu kitundu kya Busoga North etandise okunonyereza kungeri abantu 3 gyebakubiddwamu masasi, omu naafa mu disitulikiti ye Buyende.

Bino byabadde ku kyalo Iyingo mu gombolola ye Kagulu e Buyende.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Michael Kasadha agambye nti abasirikale ba poliisi babadde bagenze mu kitundu kino, okukwata abantu abagambibwa okwetaba mu kujjamu embuto.

Wabula abatuuze bavudde mu mbeera nebagala okugajambula abakuuma ddembe era mu kugezaako okuzza embeera mu nteeko, kwekukuba amasasi.

Poliisi erabudde abantu babulijjo nti bakomye okulumbagana abasirikale baabwe.