Amawulire

Omusinga bamukirizza okuziika nnyina, n’obukwakulizo

Omusinga bamukirizza okuziika nnyina, n’obukwakulizo

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu ewuliriza emisango egyaba kalintalo ekiriza Omusinga wa Rwenzururu Cahrles Wezley Mumbera, okugenda okuziika nnyina Chritine Bira Nyamukama.

Wabula omulamuzi Eava Luswata amutaddeko obukwakilizo okuli, obutetaba mu bikolwa ebimenya amateeka, ngalina kusigala ku mikolo gyokyokuziika gyokka egyamututte.

Ebirala bamulagidde nti talina kusukka districy Bundibugyo, Kasese ne Kabalolero.

Okuziika kugenda kuberawo ku lunnaku Lwokubiri, wiiki ejja.

Ono yaddukidde mu kooti ngayagala emujjeko akakwakulizo, keyamutekako obutagenda Kasese, nga talina kusuka Wakiso, Jinja ne Kampala.

Wabula mu kusooka waddenga okusaba kwe oludda oluwaabi, tekulugaanye, omulamuzi Eva Luswata abadde agamba nti yetaaga obukaku obulaga nti ddala nyina yafa, obutagendera ku bigambo byawulira mu mawulire.

Kinajjukirwa nti Mumbere yakwatibwa mu 2016 okuva mu lubiri lwe e Buhikira e Kasese, abebyokwerinda bwebazinda ekifo, mu kayolagano akafiramu abantu abasoba mu 100, era yaweebwa okweyimirirwa nga January 13th 2017 omulamuzi yoomu Eva Luswata.