Amawulire

Omusiisi w’embizzi alula

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

 

pork

Mu disitulikiti ye  Buyende poliisi ekubye omukka ogubalagala okutaasa omusiisi w’embizzi ku batuuze  gwe babadde  baagala okugajambula nga   bamulumiriza okubaguza enyama  erimu obutwa.

.Charles  Otala Ochen y’awonye okugajambulwa oluvanyuma lw’abawomerwa enyama eno  abawerako okwemulugunya  nga kagisiika bwayagala okubatta.

 bano  baavudde mu mbeera oluvanyuma lwa Moses Babi okutemesaayo kilo yakabiriizi wabula yabadde tanajimala ku lusaniya n’atandika okusesema olwo ebatuuze nebakkakana ku Ocheng nebamuwuttula okutuusa poliisi bwemutaasizza.

Ono mukwewozaako ategezezza nga bulijjo abantu bwebawomerwa embizzi ye kale nga tayinza kutema muti kwatudde nga atta bakaasitoma.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *