Amawulire
Omusawo agaanye okulokola ku mulwadde olwa ssente naafa
Bya Barbra Nalweyiso
Waliwo omukazi atemera mu gy’obukulu 19 afiridde mu ddwaliro ekkulu e Mityana ng’ono kigambibwa nti abasawo bamulagajalidde okumukolako nga baagala asooke abawe ensimbi eziwerela ddala emitwalo 35 okusobola
okumulongoosa ekyenda ekibadde kyesibye.
Sylvia Nantongo 19, ng’ono yavudde ku kyalo Mutetema mu gomboloola y’e Kalangaalo mu Disitulikiti y’e Mityana yafiiridde mu ddwaliro ekkulu e Mityana ng’ono kigambibwa nti yabadde yesibye ekyenda nga yetaaga okulongosebwa kyokka abasawo kwekusooka basabe emitwalo gyensimbi 35 okumulongoosa nga mukiseera ekyo ensimbi abajanjabi babadde tebazirinawo.
Joyce Nantale ng’ono ye Maama w’omugenzi agamba nti yegayiridde abasawo bakole ku mulwadde nga naye bwanoonya ensimbi kyokka neberema.
Omwana ow’emyaka 5 eyakebereddwa nasangibwa n’ekirwadde kya Ebola e Bwera mu Disitulikiti y’e Kasese afudde. Kigambibwa nti omwana yafudde ekiro ekikeesezza olwaleero.
Wabula era mungeri y’emu abantu 2 abalala bebazuuliddwa nga balina ekirwadde kino ekya Ebola mu Disitulikiti ey’e Kasese.