Amawulire

Omusango gwébyókulonda ku Meeya Rose Namayanja gugobeddwa

Omusango gwébyókulonda ku Meeya Rose Namayanja gugobeddwa

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba 

Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Ketra Kayunguka agobye omusango gw’ebyokulonda ogwawawabirwa meeya w’e Masaka Florence Namaynja ku bigambibwa nti ebiwandiiko byakozesa si bibye.

Kigambibwa nti Namayanja yatwalibwa mu kooti gwebaali bavuganya naye Willis Mbabazi munna NRM.

Kati Puliida wa Namayanja Alexander Lule owa Xander and company advocates atubuulidde nti bategezezza Omulamuzi nga omuntu wabwe bwataaweebwa mpaaba mu budde nga weyajibaweera ennaku z’okuloopa zaali ziweddeyo era nebasaba omulamuzi agobe omusango, Omulamuzi kwekukaanya nabo naagoba omusango nga nabaguloopa mu kkooti tebalabiseko mu lutuula lwaleero.

Mu ngeri y’emu Omubaka wa Bukomansimbi North Dr Christine Ndiwalana awerenemba n’emisango 2 ng’ogumu gwamuwaabirwa munna NRM Ruth Katushabe eyali Omubaka w’ekitundu kino nga kigambibwa nti ono ebiwandiiko byalina si bibye saako n’omulonzi eyamuwaabira Anita Tushemerire eyamuwaabira ogw’okubba obululu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *