Amawulire

Omusango gw’abatega boomu mu kuziika Lokech teguwuliddwa

Omusango gw’abatega boomu mu kuziika Lokech teguwuliddwa

Ivan Ssenabulya

November 19th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi wa kkooti eyokuluguudo buganda, ayongezaayo Omusango abantu basatu mwe bavunanibwa okutegeka okukola obulumbaganyi mu kuziika eyali amyuka ssabapoliisi Paul Loketch okutuusa nga December 13th 2021

Bano bali ku misango esatu ogwobutujju, okusangibwa ne bissi ebyomutawaana nokubeera mu bubiina bwa batujju.

Abavunanwa kuliko Rashid Katumba omutuuze wé Masajja Kibiri zone e Makindye, Najim Luyenjje omutuuze wéKijjabwami e Masaka ne Arafat Kiyemba owé Mengo Kisenyi mu Kampala

Ssabawaabi wa gavt Jane Frances Abodo agamba nti abavunanwa nga basinzira ku Atimikica Guest house e Pader nga tebafudeyo ku bulamu bwabalala batega boomu mu kifo ekyolukale mu kuziika omugezi lokech.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *