Amawulire

Omusango gwa Wakayima gugobeddwa

Omusango gwa Wakayima gugobeddwa

Ivan Ssenabulya

November 20th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Eyavuganya naggwa mu kalulu kómubaka wa palamenti owa Nansana Municipalit Hamis Musoke Walusimbi, ajjulidde mu musango gwe yatwala mu kkooti enkulu ngawakanya obuwanguzi bwa Hannington Musoke Wakayima Nsereko negugobwa.

Ngennaku zomwezi September 21st 2021 omulamuzi wa kkooti enkulu Henrietta Wolayo yagoba omusango gwa Walusimbi era nalangirira Wakayima ngomubaka omulonde owa Nansana Municipaali oluvanyuma lwa Walusimbi okulemererwa okuleeta obujjulizi obulaga nti Wakayima talina mpapula za buyigirize.

Omulamuzi yakizuula nti omubaka Wakayima yakola s.4 ne S.6 era nafuna ne diploma mu busomesa ku ITEK.

Wabula olwobutamatira nannamula ya kkooti enkulu Walusimbi yaddukidde mu kkoti ejjulirwamu nga ayagala awulirizibwe.