Amawulire

Omusango gwa Ssegirinya teguwuliddwa

Omusango gwa Ssegirinya teguwuliddwa

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Okuwuliriza omusango gwomubaka wa Kawempe North mu palamenti Muhammad Ssegirinya, ogwokukuma omuliro mu bantu, tekugenze mu maaso nga bwekubadde kusubirwa okuddamu olwaleero.

Ssegirinya ali ku alimanda mu komera lye Kigo, wabula okugowngezaayo kivudde ku kuba nti abawaabi ba gavumenti tebabadeewo.

Wano omulamuzi wedaala erisooka ku Buganda Road, Siena Owomugish waasinzidde nagwongezaayo okutukira ddala nga 12 May  2022.

Ono kigambibwa nti yakozesa omukutu gwe ogwa Facebook “Ssegirinya Muhammad Fans page” nakuma omuliro mu bantu, bweyageragerenya ebyali mu gwanga ku mbeera yekitta abantu ekye Rwanda mu mwaka gwa 1994.

Oludda oluwaabi lugamba nti emisango yagizza wakati wa August ne September mu mwaka gwa 2020 mu Kampala.

Mu musango guno, omulamuzi yamuwa okweyimirirwa wabul nasigala mu kkomea ate ku misango emirala egyobutujju, obutemu nemirala egyekuusa ku bijambiya by’eMasaka kwebaganira okumuwa okweyimirirwa.

ku misango gino avunanibwa nomubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana.