Amawulire

Omusango gwa Ssegirinya gwóngezedwayo

Omusango gwa Ssegirinya gwóngezedwayo

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2021

No comments

Bya Ruth Andera,

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala, Henerrieta Wolayo alagidde eyavuganya ku kifo kyomubaka wa Kawempe North Sulaiman Kindandala okuleeta obukakafu eri kooti, nti yawa Muhammad Ssegirinya gweyawawabira ebiwandiiko ebikwata ku mpaaba ye.

Omusago gwa Kindalala, gubadde gugenda kutandika okuwulirwa, wabula abakakiiko kebyokulonda, okuyita mu munnamateeka waabwe bagambye nti tewali musango gwonna ku Ssegirinya.

Wabula munnamateeka wa Kindandala, Kenneth Paul Kakande agambye nti Ssegirinya balaga nti baamuwawabira omusango, okuyita mu atwala ekitongole kyamakomera, nokuyita mu Public notice, nga bwebalagirwa.

Kakande agambye nti mu bugenderevu, omuwawabira yebulankanya nagaana okukiriza empaaba yaabwe.

Wabula omulamuzi Wolayo agambye nti tebataddeyo bujulizi ku byonna byebogerako.

Omusango kati, agwongeddeyo, gwakuddamu okuwulirwa nga 2 Sebtemba 2021.

Kindandala yawawabira Ssegirinya, alumiriza nti teyasoma S6.