Amawulire

Omusango gwa Nantaba gwóngezedwayo

Omusango gwa Nantaba gwóngezedwayo

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Kkooti enkulu e Mukono eraze ennaku zomwezi nga 23rd omwezi guno ngólunaku olwokutandika okuwulirirako omusango gwe byókulonda oguvunanibwa omubaka omukyala owé Kayunga Aidah Nantaba.

Omusango guli mu maaso gómulamuzi Olive Kazaarwe Mukwaya.

Eyaliko minisita owe bya technologia Aida Nantaba yakubwa mu mbuga munnakibiina kya NUP Harriet Nakwede nga agamba nti waliwo ebirumura bingi mu kulonda Nantaba.

Munnamateeka wa Nakwede, Stephen Muzuusa okuva mu ba Muzuusa and Co. Advocates agambye nti nákakiiko ke byokulonda kalina okwewozaako mu musango guno.

Mungeriyemu Nantaba alina emisango emirala 2 okuli ogwawabwa abalonzi nga balumiriza nti yabba akalulu

Munnamateeka wa Nantaba, Ambrose Tebyasa agambye nti emisango gyonna bagikwasaganya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *