Amawulire
Omusango gwa Mabiriizi omulala bagugobye
Bya Ruth Anderah
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 nate awangudde omusango omulala, ku Male Mabirizi.
Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3, nga bakulembeddwamu omulamuzi Egonda Ntende bagobye omusanago gwa Mabirizi, mwabadde ayagalira okumuwa obuwumbi n’obuwumbi bwensimbi okumuliyirira, mu misanago gyazzenga amuwabira.
Mu nnamula esomeddwa omumyuka womuwandiisi wa kooti, omusango gwa Mabiriizi guno teguliimu nsa, kubanga gwali guva amu musanago ogwagobwa omulamuzi wa kooti enkulu Henry Peter Adonyo.
Mabirizi kati bamulagidde yaba aliyirira Ssabasakka Kabaka ensimbi, zasasanyizza mu musango guno.
Mu musango ogwasooka mu 2018, Mabirizi yali awakanya entekateeka yobwakaba aokuwandiisa abasenze, ku ttaka lya Ssaabasajja ku nsimbi wakati w’emitwalo 10 ne 60, okukasa obusenze bwabwe.
Wabula ono omusango gwe, bwebagugoba olwobutaba na lukusa okuwaaba kulwabantu abalala bweyali ayogerako, kwekuddukira mu kooti ejjulirwamu.