Amawulire

Omusango gwa Lukwago teguwuliddwa

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Lukwago

Okuwulira ogwawaabwa Loodimeeya ng’awakanya ekyokumugoba mu ofiisi kwongezeddwayo okutuusa nga  15th  omwezi ogujja

Oludda oluwaabi  nga lukulembeddwamu Martin Mwangusha  lutegezezza kooti nti minisita wa kampala Frank Tumwebaze  nga ye mujulizi omukulu abadde tali mu ggwanga kale nga tasobodde kutuula naye kwogeraganyaamu ku misango gino.

Lukwago awakanya ebyasalibwawo akakiiko akaali kakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereirwe okumugoba ku bwa loodi meeya nti emirimu gyali gimulemye.

Ono era awakanaya ekya minister wa kampala Frank Tumwebaze okwongera akakiiko kano akabanga eddala oluvanyuma lw’ennaku 60 ez’okunonyereza okuggwaako nga ate tategezeddwa ku nsonga eno.

Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’ebivudde mu kooti, Lukwago asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu byasalibwaawo kooti eggye abasirikale ku ofiisi ye akole emirimu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *