Amawulire

Omusajja yetutte ku Poliisi bamusibe

Omusajja yetutte ku Poliisi bamusibe

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya Musasai Waffe

Omusajja adduse mu nnyumba ye, nasibira ku poliisi nasaba bamusibe nga bamukuuma okuva eri mukyala we, gwagambye nti abadde takyasobola kubeera naye.

Bino bibdde mu gwanga lya Italy, omusajja owemyaka 30 munnansi wa Albania bweyetutte ku poliisi.

Ono abadde abeera mu kitundu kye Guidonia Montecelio, wabweru wekibuga Roma.

Agambye nti babadde mu bufumbo bwakawundo kawkubye dinisa ne mukyala we, naye abadde amuyisa ngekyoku ttale kwekunoonya obubudamu ku poliisi.

Wabula omusajja ono era abadde mu busibe munda mu nnyumba, ku misango gyokukozesa ebiragalalagala.

Kati olutuuse ku poliisi nebaddamu nebamukwata ate olwokumenya amateeka ku kibonerezo kyokukola obusibe munda mu nnyumba.