Amawulire

Omusajja yesse lwamukazi

Ali Mivule

April 10th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad

E Kyotera mu disitulikiti ye Rakai omusajja yewadde obutwa n’afa   nga alumiriza mukaziwe okubeera omwenzi.

Omugenzi ategerekese nga  Roger Mawejje 32 omutuuze ku kyalo  Kasambya.

Okunonyereza okusoose kulaze nga ono bweyasoose okuyomba ne mukyalawe gwalumiriza obwenzi oluvanyuma neyetta

Atwala poliisi ye Kyotera  Patience Baganzi agamba baayombye ne mukaziwe namukuba bubi nyo omukazi naloopa ku poliisi namuggulako omusango gw’okumulumya nga kiteberezebwa okuba nti kino kyandiba nga kyekyatiisizza  omugenzi neyetta.

Abapoliisi ababadde bagenze mu makage okumukwata bebaagudde ku mulambo.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro okwengera okwekebejebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *