Amawulire

Omusajja olumbye musajja munne namufumita ekiso lwa Mukazi

Omusajja olumbye musajja munne namufumita ekiso lwa Mukazi

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu disitulikiti y’e Buyende eriko omusajja gwetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yafumise omusajja gw’ateebereza okuba ng’ali mumukwano ne mukyala we.

Omwogezi wa poliisi mu busoga north Michael Kasadha akakasiza ettemu lino nategeeza nti bino bibadde ku kyalo kyalo Kyoga A mu Bukungu Town council.

Agambye nti omutemu yalumbye omugenzi ng’asinziira mu maka ge n’amufumita ekiso mu kifuba.

Kasadha agamba nti omugenzi ategerekeseeko erya Bashir omutuuze ku kyalo kyekimu.

Ateberezebwa okutta musuubuzi mu kibuga Kampala era nga kigambibwa nti yagendedde kungambo ezibadde zimuweebwa kwekusalawo okulumba musajja munne namumiza omusu.

Kasadha agamba nti omutemu oluvannyuma lw’okufumita Bashir ekiso, yetutte yekka ku poliisi era naggalibwa.