Amawulire

Omusajja ayiridde mukazi we asidi

Omusajja ayiridde mukazi we asidi

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu district ye Mayuge eriko omusajja owemyaka 35 gwegalidde nga kigambibwa nti yalumbaganye eyali mukyala we namuyiira asidi.

Omukwate ye Charles Basoga nga kigambibwa nti yatuusizza obulabe ku Rebecca Babirye namuleka, ngaliko kikuba ku mukono.

Bino bibadde mu Sese zone mu Town Councilye Mayuge.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga east James Mubi agambye nti kati omukazi, addusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Jinja gyafunira obujanjabi.