Amawulire
Omusajja atuze omwana owemyaka 2
Bya Daily Monitor
Poliisi mu disitulikiti ye Budaka etandise okunonyereza kungeri, omuajja owemyaka 20 gyeyakakanye ku mwana owemyaka 2 namutuga, namutta, wabula mu mbeera tenaba kutegerekeka.
Omusajja ono ategerekeseeko erya Jamada Kawere, mutuuze ku kyalo Bwikomba wabula kigambibwa nti yasse omwana ategerekeseeko erya Rashimi.
Ono yasoose kutuma maama womwan, Namugogo Nabwire ku dduuka agule omuceere, bweyalabye nga taliiwo kwekutta omwana omulambo naguleka munda mu nnyumba.
Ssentebbe wa LC3 mu kitundu kino, Kezekia Modinghi akaksizza ettemu lino, wabula nategeeza nti okunonyereza kwa poliisi kwatandise.