Amawulire

Omusajja asse omwana naye nebamutta

Omusajja asse omwana naye nebamutta

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi, omusajja bwavudde mu mbeera natematema omwana owemyaka 13 namutta, oluvanyuma naye abatuuze nebamutta.

Omugenzi ye Julius Kyeyune ngabadde mutabani wa Henry Kazibwe omutuuze ku kyalo Kiryamenvu mu gombolola ye Butenga.

Kigambibwa nti omwana ono yabadde mu nnimiro ku muti gwa ffene, omusajja gyeyamusanze namulgira aveeyo olwo natandika okumutema.

Bino bwebyagudde mu matu gabatuuze, omusajja ono Ssebaggala Badru, naye nebamutta.

Okusinziira ku batuuze omusajja ono abadde afuuse ekizbu ku kitundu kino, nga wabulabe nnyo, nga kigambibwa nti abadde akozesa ebiragalalagala.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubunga akaksizza ettemu lino, wabula avumiridde ebikolwa byokutwaliranga amateeka mungalo.