Amawulire

Omusajja asse mutabani we

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Nabakooba again

Poliisi mu disitulikiti ye Manafwa ekutte omusajja wa myaka 56 lwakutta mutabani we wa myaka 16 gyokka.

Akwatiddwa ategerekese nga Stanley Tikitiki omutuuka ku kyaalo Bumbo e Manafwa

 Omwogezi wa poliisi mu bitundu ebyo Diana Nandawula agamba nti entabwe evudde ku nkayaana za ttaka

Omwana ono omulambo gwe gusangiddwa nkya ya leero.