Amawulire

Omusajja alumyeko omukazi okutu lwa nnusu 500/-

Omusajja alumyeko omukazi okutu lwa nnusu 500/-

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2021

No comments

Bya Ababuker Kirunda

Mu disitulikiti ye Luuka, omusajja alumyeko omukazi okutu mu nkyana ze nnusu 500.

Bino byabadde ku kyalo Butondora mu tawuni kanso ye Busalamu e Luuka.

Ssentebbe wekyalo Issa Ssenoga ngagambye nti omukazi Sophie Babirye kati ali mu ddwaliro ajanjabibwa.

Obutakanya bwabano bwabadde mu kibanda kya zzaala, nga kigambibw anti omukazi yabuzizza ekinusu kyomusajja, ekyatakudde oluyombo.

Ssentebbe asabye abatuuze bakomye okuzannya zzaala, kubanga ajiramu ebizibu bingi.