Amawulire

Omusajja akubye mulirwana we akakumbi namutta

Omusajja akubye mulirwana we akakumbi namutta

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2019

No comments

Bya Prosy Kisakye

Poliisi e Lugazi mu district ye Buikwe eriko omuvubuka atemera mu gy’obukulu 29 gwegalidde ku bigambibwa nti yakidde muliranwa we namukuba akakumbi akaamugye mu budde.

Omuvubuka ono ategerekese nga Matia kigambibwa nti yasooka kulabula balirwaanabe balekere awo, okuwa mukyala we engambo wabula yagenze okuwulira nti omukyala Nantale Justine ow’emyaka 40 yeyawa mukyala we amagezi natuuka okunoba.

Ono abadde alumiriza mulirwana era okuwa mukyala we amagezi ajjemu olubuto olwokuba mwavu. 

Sentebe w’ekitundu kino Musoke Lawrence ategeezeza ng’omuvubuka ono era bwaddenga atera okunywa enjega.

Kati omudumizi wa poliisi mu district ye Buikwe Alex Wabrire ategeezeza nti Matia wakuvunaanibwa gw’akutta muntu.