Amawulire

Omusajja abadde yesse lwa bwavu

Omusajja abadde yesse lwa bwavu

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Omuwajja owemyaka 34 wetwogerera ali ku kisituliro, anyiga biwundu, byeyafunye bweyabadde agezaako okwetta ngagamba nti abadde alemereddwa okulabirira abomu maka ge, olwa ssente ezimwekubya empi.

Okusinziira ku mwanyina Gorret Naluyima oo mutembeeyi mu Kampala naye ku Bbalaza abakwasisa amateeka mu KCCA babowa emaali ye era okuva olwo abadde alaliika nga bwagenda okwejja mu bulamu.

John Lubinga yakozesezza amafuta ge taala ku mubiri gwe neyekumamko omuliro, nga bino byabadde Namasuba-Kikajjo mu distulikiti ye Wakiso.

Omusajja ono basobodde okumutaasa, nebamuddusa mu ddwaliro e Kiruddu gyajanjabirwa.